Luke 3:2-19

2 aAna ne Kayaafa nga be Bakabona Abasinga Obukulu, Yokaana, mutabani wa Zaakaliya ng’ali mu ddungu, n’afuna obubaka obuva eri Katonda. 3 bYokaana n’atambulanga ng’agenda abuulira mu bitundu ebyetoolodde Yoludaani, ng’ategeeza abantu obubaka obw’okubatizibwa obw’okwenenya olw’okusonyiyibwa ebibi, 4nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky’ebigambo bya nnabbi Isaaya nti,

“Eddoboozi ly’oyo ayogerera mu ddungu nti,
Mulongoose ekkubo lya Mukama,
Muluŋŋamye amakubo ge;
5Buli kiwonvu kirijjuzibwa,
na buli lusozi n’akasozi birisendebwa,
na buli ekyakyama kirigololwa,
n’obukubo obulimu obugulumugulumu bulifuuka enguudo ez’omuseetwe.
6 cAbalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda.”
7 dKyeyava agamba abantu abajjanga gy’ali okubatizibwa nti, “Mmwe abaana b’emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja? 8 eKale mubale ebibala ebiraga nga mwenenyezza, so temwogera munda zammwe nti tulina jjajjaffe Ibulayimu. Kubanga mbagamba nti Katonda asobola, mu mayinja gano, okuggyiramu Ibulayimu abazzukulu. 9 fNe kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky’emiti. Noolwekyo buli muti ogutabala bibala birungi gujja kutemebwawo gusuulibwe mu muliro.”

10 gEkibiina ne kimumubuuza nti, “Kale tukole ki?”

11 hYokaana n’abaddamu ng’agamba nti, “Alina ekkooti ebbiri, emu agigabire atalina, n’oyo alina emmere aweeko oyo atalina kyakulya.”

12 iAwo abasolooza b’omusolo nabo, ne bajja babatizibwe. Ne babuuza Yokaana nti, “Omuyigiriza tukole ki?”

13 jYokaana n’abaddamu nti, “Temusoloozanga muwendo gusukka ku ogwo ogwalagibwa.”

14 kAbaserikale nabo ne babuuza Yokaana nti, “Ate ffe, tukole tutya?”

Yokaana n’abagamba nti, “Temuggyangako bantu nsimbi zaabwe. So temubawaayirizanga, n’empeera ebaweebwa ebamalenga.”

15 lAbantu baali balindirira nga basuubira, era nga buli muntu yeebuuza obanga Yokaana ye Kristo. 16 mYokaana n’addamu bonna ng’agamba nti, “Nze mbabatiza na mazzi, naye waliwo ajja, alina obuyinza okunsinga, n’okusaanira sisaanira na kusumulula lukoba lwa ngatto ze. Oyo alibabatiza n’omuliro ne Mwoyo Mutukuvu; 17 nn’olugali luli mu mukono gwe okulongoosa egguuliro lye n’okukuŋŋaanyiza eŋŋaano mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya n’omuliro ogutazikira.” 18Yokaana n’abuulirira abantu ebigambo bingi ebirala, nga bw’ababuulira Enjiri.

19 oNaye Yokaana bwe yanenya Kerode, omufuzi, olw’okutwala Kerodiya eyali muka muganda we, n’olw’ebibi ebirala Kerode bye yali akoze,
Copyright information for LugEEEE